Zephaniah 3:14-17

Oluyimba olw’Essanyu

14 aYimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 b Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
tokyaddayo kutya kabi konna.
16 cKu lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
“Totya, ggwe Sayuuni;
emikono gyo gireme okuddirira.
17 d Mukama Katonda ali naawe,
ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
alikusanyukira n’okuyimba.”
Copyright information for LugEEEE